News

PAAPA Leo XIV ayingidde olubiri lwa Paapa olutongole Paapa Francis gwe yasikidde,lwe yagaana okusulamu olw’amatiribona agaalusukka ng’ate ye ayagala kwerumya nga Francis owa Assisi.
OMUSANGO gw’okutta omugagga Katanga guzzeemu oludda oluwaabi ne luleeta akatambi akalaga dokita ng’annyonnyola embeera mweyasanga omulambo gwe n’engeri nnamwandu gyeyali asaliddwa embale.
AGAMBIBWA okukulira abayeekera ba ADF, Jamir Mukulu ayagala kkooti egobe emisango egimuvunaanibwa ng’alumiriza nti yakomezebwawo mu bukyamu, abakuumaddembe baamutulugunya, era awakanya okuwozesebwa mu ...
OMUVUBUKA eyabuukira Pulezidenti Museveni e Kawempe asindikiddwa mu kkomera e Luzira yeebakeyo emyezi 15 oluvannyuma lw’okusingisibwa emisango esatun’alaajanira Pulezidenti amusonyiwe kuba teyalina ...
ABAWAGIZI b'omupiira abaabadde abangi ku kisaawe kya Ngora High School mu Tesobaasaanuuse eggulo, Buddo SS bwe yawangudde St. Mary's SS Kitende ku fayinolo y'omupiira gw'amasomero g'eggwanga.
ABADDUKANYA takisi mu Uganda wansi w’ekibiina kya UTOF basabye minisita omubeezi ow’ebyantambula Fred Byamukama okusooka okuwulira endowooza zaabwe amanye n’engeri gye baddukanyaamu omulimu guno.
PIKIPIKI, ebibanda bya mmotoka, sipeeya w’ebidduka, embaawo ne galagi bye bimu ku bikuzizza akabuga Ndeeba. Zino ze bizinensi z’oteekayo n’obeera ku 'suwa' nga enjogera y’ennaku zino bw'eri, nti ...
JULIUS Buyinza amanyiddwa nga Barbi Jay ye yayimba akayimba aka Sumbusa, Chocolate Girl n’endala ezaamuwanika. Agaliwo galaga nti ‘Kyadondo’ agiggyeeko engalo aligiddira olulala era yagenze Norway ...
OMUYIMBI Emperor Orlandoh eyayimba akayimba aka ‘Sirika Baby’ n’omugenzi Menton Summer mu myaka gy’e 90, temulowooza nti eby’okuyimba yabivaako kuba yakoze ‘alubaamu’ empya era ategese n’ekivvulu.